Numbers 35:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oli bw'akubisanga omuntu ekyuma, gw'akubye n'afa, oyo mutemu, omutemu wa kuttibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omuntu bw’anaakubanga omuntu n’ekyuma n’amutta, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo nga mussi wa muntu, naye talemanga kuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye oyo anaakubisanga omuntu ekyuma n'amutta, oyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba nga yamukuba n'ekintu eky'ekyuma n'okufa n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa.