Numbers 35:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli ng'alina ejjinja mu ngalo eriyinza okutta, amala akuba omuntu n'afa, oyo mutemu; omutemu wa kuttibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu bw’anaabanga akutte ejjinja mu ngalo ze, n’akuba munne n’ejjinja eryo, omutemu anattirwanga ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'amukubanga ejjinja eriyinza okutta omuntu n'afa, oyo nga mussi wa muntu, talemanga kuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oyo anaakwatanga ekissi eky'ejjinja n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba nga yamukuba n'ejjinja ng'alikutte mu ngalo, eriyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa.