Numbers 35:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba alina omuggo mu ngalo oguyinza okutta, amala akuba omuntu n'afa, oyo mutemu; omutemu wa kuttibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oba omuntu bw’anaabanga akutte ekyokulwanyisa eky’omuti mu ngalo ze, ekiyinza okutta omuntu, n’akikubisa munne, munne n’afa, oyo nga mutemu; era omutemu anattirwanga ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oyo anaakubanga omuntu n'ekintu eky'omuti, era omuntu oyo n'afa; akoze ekyo nga mussi, talemanga kuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oyo anaakwatanga ekissi eky'omuti n'akikubisa omuntu, omuntu oyo n'afa, oyo akoze ekyo mutemu, era omutemu oyo, taalemenga kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga yamukuba n'ekintu eky'omuti ng'akikutte mu ngalo, ekiyinza okutta omuntu, n'afa, oyo nga mussi wa muntu: omussi w'omuntu talemanga kuttibwa.