Numbers 35:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awoolera eggwanga olw'omusaayi attanga omutemu; bw'amusanganga, amuttanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwoolezi w’eggwanga yennyini y’anattanga omutemu; bw’anaamusisinkananga anaamuttanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ow'oluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omussi w'omuntu oyo w'anamusisinkananga wonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu attiddwa, yennyini ye anattanga omutemu oyo. Bw'anaamusisinkananga, anaamuttanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuwoolezi w'omusaayi yennyini ye anattanga omussi w'omuntu: lw'amusisinkananga lw'amuttanga.