Numbers 35:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lagira Abayisirayeli bawe Abaleevi ku busika bwe balifuna ebibuga omw'okubeera, babawe amalundiro okwetooloola ebibuga byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lagira abaana ba Isirayiri nti bawanga Abaleevi ebibuga eby’okubeeramu, nga babiggya mu butaka bwabwe bwe baligabana obw’enkalakkalira. Era babaweerangako n’amalundiro okwetooloola ebibuga ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lagira abaana ba Isiraeri bawe Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku butaka bwabwe, era obawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo olw'okulundirako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Lagira Abayisirayeli, bawe Abaleevi ebibuga eby'okubeerangamu, nga batoola ku ebyo Abayisirayeli abo bye baagabana okuba obutaka bwabwe, era babawe n'ettaka eryetoolodde ebibuga ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Lagira abaana ba Isiraeri okuwa Abaleevi ebibuga eby'okutuulamu nga babiggya ku busika obw'obutaka bwabwe; era n'amalundiro ag'oku bibuga agabyetoolodde muligawa Abaleevi.