Numbers 35:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
oba olw'obukyayi amukuba ekikonde, oli n'afa, omuntu oyo wa kuttibwanga, kubanga mutemu; awoolera eggwanga olw'omusaayi bw'asanganga omutemu, amuttanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oba olw’obulabe bw’amulinako n’amukuba ekikonde, munne n’afa, omuntu oyo amukubye ekikonde anaafanga; kubanga mutemu. Omuwoolezi w’eggwanga y’anattanga omutemu oyo ng’amusisinkanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
oba yamukuba ekikonde olw'obulabe, n'amutta; oyo nga mussi wa muntu; ow'oluganda olw'okumpi olw'oyo attiddwa, talemanga kutta mussi oyo wonna w'anamusisinkananga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oba singa amukuba oluyi, oba ekikonde, olw'obulabe, omuntu oyo n'afa, oyo amukubye, mutemu, era taalemenga kuttibwa. Owooluganda olw'okumpi olw'omuntu oyo attiddwa, anattanga omutemu oyo ng'amusisinkanye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
oba yamukuba n'ekikonde olw'obulabe, n'okufa n'afa: eyamukuba talemanga kuttibwa; oyo mussi wa muntu: omuwoolezi w'omusaayi alitta omussi w'omuntu; lw'alimusisinkana.