Numbers 35:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekibiina kinaawulirizanga akubye n'oli awoolera eggwanga olw'omusaayi ne kiramula nga kigerera ku mateeka gano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale, olukiiko lw’ekibiina lunaasalangawo wakati we n’omuwoolezi w’eggwanga, nga lugoberera amateeka gano nga bwe gali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'ow'oluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale ekibiina ky'abantu kinaasalangawo mu lujjudde, wakati w'oyo eyakuba, n'owooluganda olw'okumpi olw'omufu, nga bagoberera amateeka gano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale ekibiina banaasalanga omusango gw'oyo eyakuba n'omuwoolezi w'omusaayi ng'emisango egyo bwe giri: