Numbers 35:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kinaataasanga omutemu ku oli awoolera eggwanga olw'omusaayi, nga bamuzza mu kibuga eky'obuddukiro gye yali addukidde; asigalanga eyo okutuusa kabona omukulu, eyasiigibwa omuzigo omutukuvu lw'afa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omussi oyo olukiiko lw’ekibiina lunaamuwonyanga omuwoolezi w’eggwanga, ne lumuleka n’abeeranga mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa Kabona Omukulu eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni amatukuvu ng’amaze okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina ky'abantu kinejjeerezanga omussi w'omuntu, ne kimuwonya mu mukono gw'omuwoolezi w'eggwanga era kinaamuzzangayo mu kibuga kye eky'obuddukiro; era anaabeeranga omwo okutuusa kabona eyafukibwako amafuta amatukuvu ng'afudde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibiina ky'abantu kinaawonyanga oyo eyatta nga tagenderedde, ne kimuggya mu mikono gy'owooluganda awoolera eggwanga olw'omufu, ne kimuzzaayo mu kibuga eky'obuddukiro kye yali addukiddemu, n'abeera omwo, okutuusa Ssaabakabona aliko lw'anaafanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ekibiina banaawonyanga omussi w'omuntu mu mukono gw'omuwoolezi w'omusaayi, era ekibiina banaamuzzangayo mu kibuga kye eky'okuddukirangamu kye yali addukiddemu: era anaasulanga omwo okutuusa kabona omukulu eyafukibwako amafuta amatukuvu lw'anaafanga.