Numbers 35:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awoolera eggwanga olw'omusaayi amala amusanga eyo, ayinza okumutta n'atavunaanibwa gwa kuyiwa musaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuwoolezi w’eggwanga n’amala amusanga ebweru w’ekibuga ekyo, n’amutta, omuwoolezi w’eggwanga taabengako musango gwa butemu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ng'asusse ensalo y'ekibuga kye eky'obuddukiro, n'amutta, tabengako musango gwa musaayi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
owooluganda omuwoolezi w'eggwanga n'amusanga ebweru waakyo, n'amutta, oyo amusse taabengako musango gwa butemu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omuwoolezi w'omusaayi n'amusanga ng'ali bweru w'ensalo y'ekibuga kye eky'okuddukirangamu, omuwoolezi w'omusaayi n'atta omussi w'omuntu; tabangako musango gwa musaayi: