Numbers 35:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Avunaanibwa ogw'okutta ateekwa okubeera mu kibuga omwo okutuusa nga kabona omukulu afudde. Okuggyako nga kabona omukulu amaze okufa, lw'asobola okuddayo ku butaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omussi oyo kinaamusaaniranga okubeera mu kibuga kye eky’obuddukiro okutuusa nga Kabona Omukulu amaze okufa. Kabona Omukulu anaamalanga kufa, omussi oyo n’addayo ewuwe mu bintu bye eby’obutaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'obuddukiro, okutuusa kabona omukulu ng'afudde, olwo alyoke addeyo mu nsi ey'obutaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga oyo eyatta omuntu, yandibadde abeerera ddala mu kibuga ekyo eky'obuddukiro kye yaddukiramu, okutuusa nga Ssaabakabona amaze okufa. Ssaabakabona ng'amaze okufa, olwo eyatta omuntu anaddangayo ku butaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga yalema okubeera mu kibuga kye eky'okuddukirangamu okutuusa kabona omukulu lwe yandifudde: naye kabona omukulu ng'amaze okufa kale omussi w'omuntu anaddangayo mu nsi ey'obutaka bwe.