Numbers 35:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye nkola ey'etteeka enaagobererwanga mu mazadde gammwe gonna, na wonna gye munaabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Gano ganaabeeranga mateeka gammwe ge munaakwatanga mu mirembe gyammwe gyonna ne buli we munaabeeranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ago ge ganaabanga amateeka ge muneekuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge ganaabanga amateeka ge munaakuumanga mmwe, n'abalibaddirira bonna, buli we munaabeeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ebyo binaabanga tteeka lya musango gye muli mu mirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna.