Numbers 35:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabo babeere n'ebibuga babawe amalundiro aw'okulundira ente zaabwe, endiga n'ebisolo byabwe ebirala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, olwo balibeera n’ebibuga ebyokusulangamu, n’amalundiro ag’ente zaabwe n’endiga zaabwe, awamu n’ensolo zaabwe endala ezirundibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga ebyo binaabanga by'Abaleevi okutuulamu; n'ettaka linaabanga lyabwe okulundirangako amagana gaabwe ag'ente, n'ebisibo byabwe eby'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga ebyo binaabanga bya Baleevi babibeerengamu. N'ettale lyakwo linaabanga lyabwe okulundirangamu amagana gaabwe ag'ente, n'ag'endiga n'embuzi, n'ensolo zaabwe endala zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibuga banaabanga nabyo okusulamu: n'amalundiro gaako ganaabanga ga bisibo byabwe era ga bintu byabwe era ga nsolo zaabwe zonna.