Numbers 35:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Asse omuntu attibwanga wamaze kubaawo kulumiriza kw'abajulirwa. Tewabangawo attibwa ng'alumiriziddwa omujulirwa omu yekka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu bw’anattanga munne, ne wabaawo obujulizi, omutemu oyo naye anaafanga. Naye tewaabengawo attibwa ku bujulizi obw’omuntu omu yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli anattanga omuntu yenna, anattibwanga olw'obujulizi bw'abajulirwa; naye omujulirwa omu taalumirizenga muntu yenna okuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Anaabanga asse omuntu, anattibwanga nga waliwo abajulizi waakiri babiri abamulumiriza ogw'obutemu. Bwe wanaabangawo omujulizi omu yekka amulumiriza, omuntu oyo tattibwenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli anattanga omuntu yenna, omussi w'omuntu anattibwanga olw'akamwa k'abajulirwa: naye omujulirwa omu talumirizanga muntu yenna okumutta.