Numbers 35:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temukkirizanga mutango lwa bulamu bwa mutemu bw'aba ddala ng'aliko omusango ogumusaanyiza okufa; oyo wa kuttibwanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Temukkirizanga mutango olw’okununula omussi asingiddwa omusango ogw’obutemu n’asalirwa okuttibwa; anaateekwanga okuttibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era temukkirizanga kununula bulamu bwa mussi wa muntu asaanidde okufa; talemanga kuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temukkirizenga kintu na kimu kusasulwa olw'okununula obulamu bw'omutemu asaliddwa ogw'okufa, wabula taalemenga kuttibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era temukkirizanga bya kununula bulamu bwa mussi wa muntu, asaanidde okufa: naye talemanga kuttibwa.