Numbers 35:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era temukkirizanga mutango olw'oyo addukidde mu kibuga eky'obuddukiro, mbu adde ku busika bwe nga kabona omukulu tannafa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Temukkirizanga mutango ogw’okununula omussi abeera mu kibuga eky’obuddukiro, alyoke aveeyo addeyo ewuwe nga Kabona Omukulu tannaba kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga kabona asinga obukulu tannafa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era oyo eyaddukira mu kibuga eky'obuddukiro, temuumukkirizenga kubaako ky'asasula asobole okudda ewaabwe, nga Ssaabakabona tannafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temukkirizanga bya kununula oyo eyaddukira mu kibuga kye eky'okuddukirangamu, akomewo okutuula mu nsi, okutuusa kabona lw'alifa.