Numbers 35:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temujaajaamyanga nsi yammwe mwe muli. Okuyiwa omusaayi kujaajaamya ensi, ate ettaka terisobola kuddaabirizibwa olw'omusaayi gw'omuntu oguliyiseeko, okuggyako omusaayi gw'oyo yennyini eyayiwa omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Temwonoonanga nsi gye mubeeramu. Okuyiwa omusaayi kyonoona ensi; okutangiririra ensi omuyiise omusaayi si kyangu, okuggyako ng’etangiririrwa n’omusaayi gw’oyo eyayiwa omusaayi mu nsi omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obussi bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obussi obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo omussi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe mulikola ekyo, muliba mwonoonye ensi gye mubeeramu, kubanga obutemu bwonoona ensi. Tewali kiyinza kufunira nsi kisonyiwo olw'obutemu obwakolebwa mu yo, okuggyako okutta oyo eyatemula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe mutyo temwonoonanga nsi gye mulimu: kubanga omusaayi, ogwo gwe gwonoona ensi: so n'ensi teyinza kutangirirwa olw'omusaayi oguyiise omwo, wabula n'omusaayi gw'oyo eyaguyiwa.