Numbers 35:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awamu bye bibuga ana mu munaana bye munaawa Abaleevi, n'amalundiro gaakwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okutwalira awamu muliteekwa okugabira Abaleevi ebibuga amakumi ana mu munaana, mubagattireko n’amalundiro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana (48); n'ettaka ery'okulundirangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi, biriba amakumi ana mu munaana, nga biriko ettale lyakwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibuga byonna bye muliwa Abaleevi biriba ebibuga ana mu munaana; byo n'amalundiro gaabyo.