Numbers 35:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga bye munaggya ku butaka bw'Abayisirayeli binaagererwa ku busika buli kika bwe kirina; abalina obungi mubaggyangako bingi, abalina ebitono mubaggyangako bitono.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gw’ebibuga bye muligabira Abaleevi gulyesigamizibwa ku bunene n’obutono obwa buli busika obw’abaana ba Isirayiri. Ab’obusika obunene muliwaayo ebibuga bingi, n’ab’obusika obutono muliwaayo ebibuga bitono.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abaisiraeri okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga bye muliggya ku butaka bw'Abayisirayeli okubigaba, abangi mulibaggyako bingi, n'abatono mulibaggyako bitono. Buli kika kiriwa Abaleevi ebibuga, okusinziira ku bungi bw'ebibuga bye kyagabana.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebibuga bye muliggya ku butaka obw'abaana ba Isiraeri okubigaba, ku bangi muliggyako bingi; ne ku batono muliggyako bitono: buli muntu ng'obusika bwe bwe buliba bw'alisikira, bw'atyo bw'aligabira Abaleevi ku bibuga bye.