Numbers 36:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulu b'ennyumba za bakitaabwe mu lunyiriri lwa Gileyaadi mutabani wa Makiri, mutabani wa Manasse, bazzukulu ba Yozefu, bajja eri Musa n'abakulembeze abakulu b'endyo mu Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulembeze b’ennyumba z’empya ez’omu lunyiriri lwa Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, nga bava mu kika kya Yusufu, ne bajja ne boogera ne Musa n’abakulembeze n’abazadde b’abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakulu b'ennyumba mu lulyo lw'abo abasibuka mu Gireyaadi, mutabani wa Makiri era muzzukulu wa Manase, omu ku batabani ba Yusufu, ne bajja eri Musa n'abakulembeze abalala Abaisiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulu b'ennyumba mu lulyo lw'abo abasibuka mu Gileyaadi, mutabani wa Makiri era muzzukulu wa Manasse, omu ku batabani ba Yosefu, ne bajja eri Musa n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'enda y'abaana ba Gireyaadi, mutabani wa Makiri, mutabani wa Manase, ow'oku nda za batabani ba Yusufu, ne basembera ne boogerera mu maaso ga Musa ne mu maaso g'abakulu, emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri: