Numbers 36:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baafumbirwa mu bazzukulu ba Manasse, mutabani wa Yozefu; obusika bwabwe ne busigala mu kika ne mu masiga ga bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baafumbirwa mu mpya za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, ebyobusika byabwe ne bisigala mu kika kya kitaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase, mutabani wa Yusufu; obutaka bwabwe ne bubeeranga mu kika eky'enda ya kitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baafumbirwa ba mu Kika kya Manasse, mutabani wa Yosefu, obusika bwabwe obw'ensikirano ne busigala mu kika kya kitaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baafumbirwa ku nda za batabani ba Manase mutabani wa Yusufu, obusika bwabwe ne bubeeranga mu kika eky'enda ya kitaabwe.