Numbers 36:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye biragiro n'amateeka Omukama bye yawa Abayisirayeli ng'abiyisa mu Musa mu miseetwe gy'e Mowabu ku Yorudani emitala wa Yeriko.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ago ge mateeka n’ebiragiro Mukama Katonda bye yalagira Musa n’abituusa eri abaana ba Isirayiri nga bali mu nsenyi za Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa abaana ba Isiraeri ng'ayita mu Musa, mu nsenyi z'e Mowaabu, ku Yoludaani, okwolekera Yeriko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ago ge mateeka n'ebiragiro Mukama bye yawa Abayisirayeli ng'ayita mu Musa, mu nsenyi z'e Mowaabu ku Yorudaani, okwolekera Yeriko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bye biragiro n'emisango, Mukama bye yalagira abaana ba Isiraeri n'omukono gwa Musa mu nsenyi za Mowaabu ku Yoludaani e Yeriko.