Numbers 36:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bagamba nti: “Ssebo, mukama waffe, Omukama bwe yakulagira ensi ogisalemu obusika obugabire Abayisirayeli ku kalulu, bawala ba Zelofekadi muganda waffe wabawa obusika bwa kitaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bagamba nti, “ Mukama Katonda yalagira mukama waffe, abaana ba Isirayiri obagabanyizeemu ettaka ery’obusika bwabwe ng’okuba akalulu, era n’akulagira ebyobusika ebya muganda waffe Zerofekadi abigabire abaana be abawala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bagamba Musa nti, “ Ssebo, Mukama yakulagira okugabira Abaisiraeri ensi okuba obutaka bwabwe obw'ensikirano ng'okuba akalulu. Mukama era yakulagira, obutaka obw'ensikirano obwa muganda waffe Zerofekadi okubuwa bawala be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagamba nti: “Ssebo, Mukama yakulagira okugabira Abayisirayeli ensi okuba obutaka bwabwe obw'ensikirano ng'okuba kalulu. Mukama era yakulagira, obutaka obw'ensikirano obwa muganda waffe Zelofehaadi okubuwa bawala be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne boogera nti Mukama yalagira mukama wange okugabira abaana ba Isiraeri ensi n'obululu okuba obusika: era mukama wange yalagirwa Mukama okugabira obusika bwa Zerofekadi muganda waffe bawala be.