Numbers 36:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa tebalifumbirwa basajja okuva mu bika ebirala eby'Abayisirayeli, obusika bwabwe bugenda kuggyibwa ku busika bwa bajjajjaffe buddire obusika bw'ekika gye bafumbiddwa. Ekitundu ky'obusika bwaffe obwatuweebwa bwe kityo kigenda kutwalibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale, nno, bwe balifumbirwa abalenzi abazaalibwa mu bika ebirala eby’abaana ba Isirayiri, ebyobusika byabwe bigenda kuggyibwa ku by’obusika obwa bajjajjaffe bigattibwe ku by’obusika obw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa. Kale olwo ebyobusika bye twagabana birituggyibwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe balifumbirwa abasajja ab'ebika ebirala eby'Abaisiraeri, obutaka bwabwe obw'ensikirano buliggyibwa ku butaka obw'ensikirano obwaweebwa bakitaffe, ne bugattibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ebika ebirala bye balifumbirwamu, ekyo ne kikendeeza ku butaka bwaffe obw'ensikirano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe balifumbirwa abasajja ab'ebika ebirala eby'Abayisirayeli, obutaka bwabwe obw'ensikirano buliggyibwa ku butaka obw'ensikirano obwaweebwa bakitaffe, ne bugattibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ebika ebirala bye balifumbirwamu, ekyo ne kikendeeza ku butaka bwaffe obw'ensikirano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe banaafumbirwanga yenna ku baana b'ebika by'abaana ba Isiraeri ebirala, kale obusika bwabwe bunaggibwanga ku busika bwa bakitaffe, ne bugattibwa ku busika obw'ekika kye balibaamu: bwe butyo buliggibwa ku mugabo gw'obusika bwaffe.