Numbers 36:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwaka gwa Bayisirayeli ogw'Ekijaguzo bwe gulituuka, bye baasikira bigenda kuddira ebika gye baafumbirwa, ekitegeeza nti ebyabwe bigenda kuggyiba ku busika bwa bajjajjaffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Omwaka gwa Jjubiri ogw’abaana ba Isirayiri bwe gunaatuukanga, ebyobusika byabwe bigenda kugattibwanga ku bw’ebika abawala abo gye banaabanga bafumbiddwa, n’eby’obutaka bwabwe nga bitoolebwa ku butaka obwa bajjajjaffe obw’ensikirano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwaka ogwa jjubiri ogw'abaana ba Isiraeri bwe gulituuka, kale obutaka obw'ensikirano obwa bawala ba Zerofekadi buligattirwa ddala ku butaka obw'ensikirano obw'ekika mwe baliba bafumbiddwa, bwe butyo ne buggyibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ekika kyaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwaka gw'okujaguza ogw'Abayisirayeli bwe gulituuka, kale obutaka obw'ensikirano obwa bawala ba Zelofehaadi buligattirwa ddala ku butaka obw'ensikirano obw'ekika mwe baliba bafumbiddwa, bwe butyo ne buggyibwa ku butaka obw'ensikirano obw'ekika kyaffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo jjubiri ogw'abaana ba Isiraeri bwe gulituuka, kale obusika bwabwe buligattibwa ku busika obw'ekika ekiriba ekyabwe: bwe butyo obusika bwabwe buliggibwa ku busika obw'ekika kya bakitaffe.