Numbers 36:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ng'agoberera Omukama bye yali agambye, n'alagira nti: “Ekika kya Bayozefu kyogedde kituufu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’addamu abantu ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Abava mu batabani ab’omu kika kya Yusufu kye bagamba kituufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'alagira abaana ba Isiraeri nga Mukama bwe yamugamba. N'agamba nti, “ Ab'ekika kya batabani ba Yusufu boogera bya nsonga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'alagira Abayisirayeli nga Mukama bwe yamugamba. N'agamba nti: “Ab'Ekika kya mutabani wa Yosefu kye bagamba kituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'alagira abaana ba Isiraeri ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali ng'ayogera nti Ekika kya batabani ba Yusufu boogera bya nsonga.