Numbers 36:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era lino lye tteeka Omukama ly'alangiridde ku bawala ba Zelofekadi: Basobola okufumbirwa yenna gwe baagala, kasita abeera nga wa mu kika kya bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kye kiragiro kya Mukama Katonda ku nsonga z’abawala ba Zerofekadi: Mubaleke bafumbirwenga omusajja gwe baneesiimiranga, naye omusajja oyo gwe banaafumbirwanga anaavanga mu kika kya kitaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kye kigambo Mukama ky'alagira ku bawala ba Zerofekadi nti, ‘Ba ddembe okufumbirwa gwe basiimye, kyokka bafumbirwe ba mu kika kya kitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kino Mukama ky'alagidde ku bawala ba Zelofehaadi. Agambye nti: ‘Ba ddembe okufumbirwa gwe basiimye, naye bafumbirwe ba mu kika kya kitaabwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kye kigambo Mukama ky'alagira ku bawala ba Zerofekadi, ng'ayogera nti Bafumbirwenga gwe banaasiimanga; kyokka ku nda y'ekika kya kitaabwe kwe banaafumbirwanga.