Numbers 36:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Teri busika mu Yisirayeli kuva mu kika kimu kudda mu kirala, kubanga Abayisirayeli ba kukuuma butiribiri obusika bwa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu by’obusika bw’abaana ba Isirayiri, tewaabengawo butaka obw’obusika obunaggibwanga mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala, kubanga buli omu mu baana ba Isirayiri anaakuumanga butiribiri obutaka obw’omu kika kye bw’anaabanga asikidde okuva ku bajjajjaabe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaabenga butaka bwa nsikirano mu baana ba Isiraeri obunaakyukanga okuggyibwa mu kika ekimu ne buzzibwa mu kirala. Buli mwana wa Isiraeri anaakuumanga obutaka obw'ensikirano obw'ekika kya kitaawe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaabenga butaka bwa nsikirano mu Bayisirayeli, obunaakyukanga okuggyibwa mu kika ekimu ne buzzibwa mu kirala. Buli Muyisirayeli anaakuumanga obutaka obw'ensikirano obw'ekika kya kitaawe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obw'abaana ba Isiraeri obunaakyukanga okuva mu kika okuyingira mu kika kinnaakyo: kubanga abaana ba Isiraeri baneegattanga buli muntu n'obusika obw'ekika kya bakitaabwe.