Numbers 36:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawala bonna abasikira obusika mu kika eky'Abayisirayeli, bajja kufumbirwanga basajja ba mu kika kya bajjajjaabwe, bwe kityo buli Muyisirayeli akuumenga obusika bw'ekika kya bajjajjaabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli mwana owoobuwala anaasikiranga obutaka mu kika kyonna eky’abaana ba Isirayiri, anaateekwanga okufumbirwa omusajja ow’omu kika kya kitaawe w’omuwala oyo; bwe kityo buli mwana wa Isirayiri anaabeeranga n’obutaka obw’obusika bwa bakitaawe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muwala anaafunanga obutaka obw'ensikirano mu kika eky'Abaisiraeri, anaafumbirwanga musajja wa mu kika ekyo, olwo abaana ba Isiraeri basobolenga okufuna ku butaka bwa kitaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muwala anaafunanga obutaka obw'ensikirano mu kika eky'Abayisirayeli, anaafumbirwanga musajja wa mu kika ekyo, buli Muyisirayeli alyoke asobolenga okufuna obusika obw'ensikirano obwa bajjajjaabe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli muwala, anaabanga n'obusika mu kika kyonna eky'abaana ba Isiraeri, anaabanga mukazi w'omu ku nda ey'ekika kya kitaawe, abaana ba Isiraeri balyoke balye buli muntu obusika bwa bakitaabwe.