Numbers 36:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali bya busika kuva mu kika kimu kudda mu kirala; buli kika kya kukuuma obusika bwe kyasikira.” Bawala ba Zelofekadi ne bakola ng'Omukama bwe yalagira Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo tewaabengawo butaka obw’obusika obuggyibwa mu kika ekimu ne butwalibwa mu kika ekirala; kubanga buli kika eky’abaana ba Isirayiri kinaakuumanga butiribiri obutaka bw’obusika obw’ekika ekyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obunaakyukanga okuva mu kika ekimu okudda mu kirala. Buli kika eky'abaana ba Isiraeri kinaakuumanga obutaka bwakyo obw'ensikirano.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo tewaabenga busika bwa nsikirano bukyuka kuggyibwa mu kika kimu, kuzzibwa mu kirala. Buli kika eky'Abayisirayeli kinaakuumanga obusika bwakyo obw'ensikirano.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kityo tewaabengawo busika bwonna obunaakyukanga okuva mu kika okuyingira mu kika ekirala; kubanga ebika by'abaana ba Isiraeri baneegattanga buli muntu n'obusika bwe ye.