Numbers 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omwaliiro ogwa zaabu bagwanjululizangako olugoye olwa kakobe, kungulu ne babikkako ekibikkako eky'eddiba ekkunye, ne bayisaamu emisituliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa bbulu ne babikkako amaliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ne ku alutaari eya zaabu, banaayaliirirangako olugoye olwa bbululu, ne bateekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa kaniki, ne balusabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo: