Numbers 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bassa kuli kyonna ekyeyambisibwa ku mwaliiro: ensaniya okubeera omuliro, entoozo, ebitiiyo, ebikopo, n'ebibya ebyeyambisibwa mu kumansira, ne byonna ebyeyambisibwa ku mwaliiro. Banjululizangako ekibikkako eky'eddiba ekkunye, olwo ne bayisaamu emisituliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gy’oku kyoto, nga mwe muli ensiniya ez’omuliro, n’ewuuma, n’ebijiiko n’ebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye bakozesa: engyo, amakato ge bakwasa ennyama, ebijiiko, ebibya, n'ebintu byonna eby'ekyoto ebirala, ne babisabika mu maliba amagonvu, ne bakiyingizaamu emisituliro gyakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagiteekako ebintu byayo byonna ebikozesebwa ku yo: ensaniya ezinyookezebwako obubaane, ffooka ez'okukwasa ennyama, ebitiiyo eby'okuyooza evvu, n'ekkalaayi ezikozesebwa mu kumansira. Ebintu bya alutaari ebyo byonna ne babiteekako ekibikka eky'amaliba amagonvu, ne bagiwangako emiti gyayo kw'esitulirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye baweerezesa emirimu gyakyo, emmumbiro, n'eby'okukwasa ennyama, n'ebijiiko, n'ebibya, ebintu byonna eby'ekyoto; ne bakyaliirako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo.