Numbers 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Aroni ne batabani be bwe bamalanga okuzingako ekitukuvu na byonna ebigenderako olusiisira nga lusitula, olwo aba Kewati nga bayingira basitule. Kyokka sibakwatanga ku bitukuvu ebyo, sikulwa nga bafa. Egyo gye mirimu gy'aba Kewati mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ebintu byonna eby'omuwatukuvu; ng'okusitula kutuuse, ab'olulyo lwa Kokasi ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebakwatanga ku bintu ebitukuvu byonna, baleme okufa. Egyo gy'emirimu gy'abasajja ab'omu lulyo lwa Kokasi mu Weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Arooni ne batabani be bwe banaamalirizanga okusabika buli kintu ekitukuvu ne byonna ebikigenderako, ab'omu lusiisira nga banaatera okutandika olugendo, Abakohati ne balyoka bajja okubisitula. Naye tebaakwatenga butereevu ku bitukuvu, sikulwa nga bafa. Ebyo bye bintu eby'omu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, Abakohati bye banaasitulanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ku watukuvu, n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, olusiisira nga lunaatera okusitula; oluvannyuma batabani ba Kokasi ne balyoka bajja okubisitula: naye tebakomanga ku watukuvu, baleme okufa. Ebyo gwe mugugu gwa batabani ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu.