Numbers 4:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eleyazari, mutabani wa Aroni kabona, y'anaakuumanga omuzigo ogwakira mu ttawaaza, obubaani obw'akawoowo, obuwunga obw'ekitambiro ekya buli lunaku, n'omuzigo ogusiiga. Era y'anaavunaanyizibwanga ku Kisulo, ebyamu byonna, ebintu ebitukuvu ebikozesebwamu, na ku buli kyonna ekidda ku Kisulo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, y’anaabeeranga n’obuvunaanyizibwa obw’amafuta g’ettaala ag’omuzeeyituuni, n’obubaane obwakaloosa, n’ekiweebwayo eky’okulaga eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula. Era y’anaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, n’awatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona, y'anavunaanyizibwanga okuterekanga amafuta g'ettabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'eweema n'ebigirimu byonna; awatukuvu n'ebintu byamu byonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eleyazaari mutabani wa Arooni kabona, ye anaabanga n'omulimu ogw'okulabirira amafuta ag'ettaala, n'obubaane obuwunya akaloosa, n'ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekitabulawo, n'omuzigo ogufukibwa ku bantu ne ku bintu. Era ye anaalabiriranga Eweema yonna, n'ebigirimu byonna, Ekifo Ekitukuvu n'ebintu byamu byonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona by'anaateresebwa binaabanga mafuta ga ttabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'amafuta ag'okufukako, anaateresebwanga eweema yonna, n'ebigirimu byonna, awatukuvu n'ebintu byawo.