Numbers 4:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino kye muba mukola, balame, baleme kufa nga babadde basemberedde ebintu ebitukuvu ennyo: Aroni ne batabani be bayingiranga ne bakwasa buli omu ky'anaakola ne ky'anaasitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe n’ebyo by’aneetikkanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, nga basemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne bagabira buli muntu omulimu gwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kino kye muba mubakolera balemenga kufa, bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo: Arooni ne batabani be, be banaayingiranga ne bawa buli muntu omulimu gw'anaakola, n'ekintu ky'anaasitula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, ng'abasemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne balagira buli muntu okuweereza kwe n'omugugu gwe: