Numbers 4:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bala Abaleevi bonna abazzukulu ba Gerusoni, mu nnyumba za bajjajjaabwe ne mu masiga gaabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bala ne batabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bala abasajja ab'omu lulyo lwa Gerusoni, ng'ennyumba za bakitaabwe n'enda zaabwe bwe ziri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bala abasajja ab'olulyo lwa Gerusooni, ng'ogoberera ennyumba za bajjajjaabwe n'ensibuko zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bala omuwendo gw'abaana ba Gerusoni nabo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri;