Numbers 4:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bala abasajja bonna abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, abasobola okutabaala, baweereze mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abasajja abawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, b'oba obala, buli asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano b'oba obala; bonna abayingira okulwana olutalo olwo, okukola omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu.