Numbers 4:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ba kusitulanga entimbe z'Ekisulo, Weema ey'Ensisinkano, ekigibikka, n'ekibikkako ekisooka kungulu eky'eddiba ekkunye, olutimbe olw'oku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
banaasitulanga entiimbe z'Eweema ey'okusisinkanirangamu, era n'ebigibikkako: eky'omunda n'eky'okungulu, eby'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
banaasitulanga entimbe z'Eweema Entukuvu, n'Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, era n'ekigibikkako ekyomunda, n'ekigibikkako ekyokungulu eky'amaliba amagonvu, n'olutimbe olw'omu mulyango oguyingira mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
banaasitulanga amagigi ag'ennyumba, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, ebisabika ku yo, n'amaliba g'eŋŋonge agagisabikako waggulu, n'eggigi ery'oluggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu;