Numbers 4:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
entimbe eza bbugwe w'oluggya olwetooloola Ekisulo n'omwaliiro, olutimbe olw'omu muzigo gwa wankaaki wa bbugwe, emiguwa, na byonna ebikola n'ebyeyambisibwa ku mirimu gyabyo. Abagerusoni be balivunaanyizibwa ku ebyo byonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'entimbe ez'oluggya, n'olw'omu mulyango ogwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emiguwa gyabyo, n'ebintu byonna ebikozesebwa okuweereza. Ebyo bye banaakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'entimbe ez'oluggya, n'olutimbe olw'omu mulyango oguyingira mu luggya olwetooloola Eweema Entukuvu ne alutaari enjuyi zonna, n'emiguwa, ne byonna ebikozesebwa ku ntimbe ezo. Banaakolanga emirimu gyonna egyetaaga okukolebwa ku bintu ebyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'oluggi lwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emigwa gyabyo, n'ebintu byonna eby'okuweereza kwabyo, n'emirimu gyonna gye binaakolanga, ebyo bye banaaweerezanga.