Numbers 4:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni ne batabani be be banaalagiriranga Abagerusoni buli omu ky'anaakolanga ne ky'anaasitulanga. Ggwe onobategeezanga bye banaakolanga ne bye banaasitulanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni ne batabani be, be banaagabiranga ab'olulyo lwa Gerusoni emirimu gye banaakolanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni ne batabani be, be banaalaganga Abagerusooni emirimu gyonna gye bateekwa okukola, oba gya kusitula migugu, oba gya buweereza bulala. Byonna eby'okusitula mmwe munaabibakwasanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni ne batabani be be banaalagiranga okuweereza kwonna okwa batabani ba Gerusoni, mu kusitula kwabwe kwonna ne mu kuweereza kwabwe kwonna: era mmwe munaabagabiranga okusitula kwabwe kwonna okubakukwasa.