Numbers 4:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Egyo gye mirimu gy'ab'essiga ly'Abagerusoni mu Weema ey'Ensisinkano. Anaabalagiriranga ye Yitamari mutabani wa Aroni kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Gerusoni mu Weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabanga omukulu waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Egyo gye mirimu ab'olulyo lwa Gerusooni gye banaakolanga mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaagikolanga nga balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabaai ba Gerusoni mu weema ey'okusisinkanirangamu: n'okulagirwa kwabwe kunaabanga wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.