Numbers 4:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abasajja bonna abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, abasobola okutabaala, baweereze mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu egy'omu Weema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubale okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu n'okusingawo, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli asobola okukola omulimu ogw'obuweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano, bonna abayingira mu kuweereza okwo, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu.