Numbers 4:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gino gye mirimu gyabwe nga bwe banaakolanga mu Weema ey'Ensisinkano: ba kusitulanga embaawo z'Ekisulo, emikiikiro, empagi n'entobo zaazo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu: Okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, n’embaawo zaayo, n’empagi n’ebibya mwe zituula,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gino gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu: okusitula embaawo z'Eweema n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omulimu gwabwe mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu, gunaabanga gwa kusitula mbaawo z'Eweema Entukuvu, n'emikiikiro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kino kye kiragiro eky'okusitula kwabwe, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli mu weema ey'okusisinkanirangamu; embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;