Numbers 4:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era n'empagi za bbugwe w'oluggya olwetooloola Ekisulo n'omwaliiro, entobo zaazo, enkondo za Weema n'emiguwa gyako, ebikozesebwamu byonna, na buli kigendera ku mulimu gwazo. Buli muntu musalire by'anaasitulanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
awamu n’empagi ezeebungulula oluggya n’ebibya byazo mwe zituula, n’enkondo z’eweema, n’emiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya g’ebintu byennyini by’ajjanga okwetikka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'empagi ez'oluggya olwetooloola Weema, n'embaawo ezirimu ebinnya omusimbwa empagi n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, ebikozesebwa mu kuweereza kwonna. Banaagabirwanga emirimu egy'okukola ng'omuwendo gwabwe bwe guli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'empagi z'oluggya olwetooloola Eweema ey'Okunsisinkanirangamu, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emiguwa gyazo, wamu ne byonna ebikozesebwa ku bintu ebyo. Munaawandiikanga amannya gaabwe okulaga buli omu ekintu ky'aweereddwa okusitula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, n'okuweereza kwazo kwonna: era munaabagabiranga ng'amannya gaabwe bwe gali ebintu bye banaalagirwanga bye banaasitulanga.