Numbers 4:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ogwo gwe mulimu gw'ab'essiga lya Merari mu Weema ey'Ensisinkano. Anaabalabiriranga ye Yitamari mutabani wa Aroni kabona.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Egyo gy'emirimu gy'ab'olulyo lwa Merali gye banaakolanga mu weema ey'okusisinkanirangamu; era Isamaali, mutabani wa Alooni kabona, y'anaabaanga omukulu waabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Egyo gye mirimu ab'olulyo lwa Merari gye banaakolanga, nga baweereza mu Weema ey'Okunsisinkanirangamu. Banaagikolanga nga balabirirwa Yitamaari, mutabani wa Arooni kabona.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli, mu weema ey'okusisinkanirangamu, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.