Numbers 4:34 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni n'abakulu b'ekibiina baabala aba Kewati mu nnyiriri zaabwe ne nnyumba za bajjajjaabwe
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa ne Alooni n’abakulembeze b’abantu ne babala batabani b’Abakokasi ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala ab'olulyo lwa Kokasi, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa ne Arooni n'abakulembeze abalala ab'Abayisirayeli, ne babala abasajja ab'omu lulyo lwa Kohati, nga bagoberera ensibuko z'Abakohati abo, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala batabani b'Abakokasi, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,