Numbers 4:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abali wakati w'emyaka amakumi asatu n'ataano, bonna abasobola okutabaala, ab'okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abaali bawezezza emyaka asatu (30) okutuusa ku myaka ataano (50), abasobola okukola emirimu mu Weema ey'okusisinkanirangamu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okuva ku bawezezza emyaka amakumi asatu, okutuusa ku bawezezza emyaka amakumi ataano, buli eyali asobola okukola omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu,