Numbers 4:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaabalibwa mu masiga gaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe baawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630).
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu (2,630).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abo abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe, baali enkumi bbiri mu lukaaga mu asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abo abaabalibwa ku bo, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu lusanvu mu asatu.