Numbers 4:41 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ab'ennyiriri z'Abagerusoni baabalibwa, bonna abaweereza mu Weema ey'Ensisinkano. Musa ne Aroni be baabala ng'Omukama bwe yali abagambye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Gerusoni, abasobola okuweereza mu Weema ey'okusisinkanirangamu nga Mukama bwe yabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be b'omu lulyo lwa Gerusooni bonna, abaakolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Gerusoni, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali.