Numbers 4:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ab'ennyiriri z'aba Merari baabalibwa mu nnyiriri zaabwe ne mu nnyumba za bajjajjaabwe
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Merali baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abo abaabalibwa mu lulyo lwa Merali, ng'enda zaabwe n'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abasajja ab'omu lulyo lwa Merari abaabalibwa okusinziira ku nsibuko zaabwe, n'ennyumba za bajjajjaabwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abo abaabalibwa ku nda za batabani ba Merali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,