Numbers 4:45 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo be baabalibwa mu nnyiriri z'aba Merari. Musa ne Aroni be baabala ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogw’omu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo Musa ne Alooni be baabala mu lulyo lwa Merali nga Mukama bwe yabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abo be b'omu lulyo lwa Merari, Musa ne Arooni be baabala, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Merali Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.